Ecclesiastes 2

Amasanyu Tegagasa

1 aNayogera munda yange nti, “Jjangu kaakano ngezese okusanyuka. Weesanyuse.” Naye laba, na kino kyali butaliimu. 2 bNagamba nti, “Okuseka busirusiru. Era okusanyuka kugasa ki?” 3 cNanoonyereza n’omutima gwange, bwe nnaasanyusa omubiri gwange n’omwenge, nga nkyagoberera okunoonya amagezi. Nayagala okulaba abantu kyebasaanira okukola wansi w’enjuba mu nnaku ez’obulamu bwabwe entono.

4 dNatandikawo emirimu egy’amaanyi: ne neezimbira amayumba ne neesimbira ennimiro ez’emizabbibu. 5Ne neerimira ennimiro, ne neekolera n’ebifo ebigazi, ne nsimbamu buli ngeri ya miti egy’ebibala. 6Ne neesimira ebidiba omuva amazzi ag’okufukirira ebibira by’emiti emito. 7Neefunira abaddu abasajja n’abakazi, era nalina abaddu abaazaalirwa mu nnyumba yange. Ne mbeera n’amagana g’ente n’ebisibo by’endiga okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemi. 8 eNe neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu ebyavanga mu misolo, egyampebwanga bakabaka n’egyavanga mu bwakabaka bwabwe. Neefunira abayimbi abasajja n’abakazi, ne nfuna n’ebintu byonna ebisanyusa omuntu, ne neefunira n’abakazi. 9 fNe nfuuka mukulu ne nsukkirira bonna abansooka mu Yerusaalemi. Mu ebyo byonna nasigala siweebuuse mu magezi.

10Na buli amaaso gange kye gaayagala okulaba sa kigamma,
omutima gwange ne ngusanyusa mu buli kimu.
Omutima gwange gwasanyukira bye nakola byonna,
era eyo y’empeera yange olw’okutegana kwange kwonna.
11 gAwo bwe nalowooza byonna emikono gyange bye gyakola,
n’okutegana kwonna nga nkola,
laba, byonna bwali butaliimu na kugoberera mpewo,
tewaali na kimu kye nagobolola wansi w’enjuba.

Amagezi Agatali ga Katonda n’Obusirusiru Byombi Butaliimu

12 hAwo ne nkyuka ne ndowooza ku magezi,
ne ku ddalu ne ku busirusiru,
kubanga oyo aliddirira kabaka mu bigere alibaako ki ky’akola,
okuggyako ekyo kabaka ky’akoze?
13 iAwo ne ndaba amagezi nga gasinga obusirusiru,
n’ekitangaala nga kisinga ekizikiza.
14 jOmugezi amaaso ge gali mu mutwe gwe,
naye atalina magezi atambulira mu kizikiza.
Kyokka ne ntegeera
nga bombi akabi kabatuukako.
15 kNe ndyoka njogera mu mutima gwange nti,

“Ekyo ekigwa ku musirusiru nange kirintuukako.
Kale lwaki mbeera omugezi?”
Era na kino ne nkizuula
nga butaliimu.
16 lKubanga ku mugezi ne ku musirusiru tewaliwo ajjukirwa lubeerera;
mu nnaku ezirijja bombi baliba beerabirwa dda.
Okufaanana ng’omusirusiru n’omugezi naye alifa.
17 mAwo ne nkyawa obulamu kubanga buli ekikolebwa wansi w’enjuba kindeetera buyinike. Byonna butaliimu na kugoberera mpewo. 18 nNakyawa okutegana kwange kwonna kwe nateganamu wansi w’enjuba, kubanga byonna ndi wakubirekera oyo alinzirira mu bigere. 19Kale ani amanyi obanga aliba musajja mugezi oba musirusiru? Kyokka ye y’aliba mukama w’ebyo byonna bye nateganira nga nkozesa amagezi gange wansi w’enjuba; era na kino nakyo butaliimu. 20Awo ne nterebuka olw’okutegana kwange kwonna wansi w’enjuba. 21Kubanga oluusi omuntu ategana ng’akozesa amagezi ge n’okumanya awamu n’obukalabakalaba bwe, naye byonna ateekwa okubirekera oyo atabiteganiranga nako. Na kino nakyo butaliimu na kabi keereere. 22 oOmuntu afuna ki mu kutegana kwe kwonna n’okukaluubirirwa mu ebyo by’ateganamu wansi w’enjuba? 23 pKubanga ennaku ze zonna n’okutegana kwe bijjula bulumi; era ne mu kiro omutima gwe teguwummula; na kino nakyo butaliimu.

24 qTewali kisingira muntu kulya na kunywa na kusanyukira mu ebyo by’akola. Na kino nkiraba, kiva mu mukono gwa Katonda, 25kubanga awatali ye, ani ayinza okulya oba asobola okusanyuka? 26 rKubanga omuntu asanyusa Katonda, Katonda amuwa amagezi n’okumanya n’essanyu; naye omwonoonyi Katonda amuwa omulimu gw’okukuŋŋaanyiza oyo asanyusa Katonda. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.

Copyright information for LugEEEE